Entiisa ebuutikidde abatuuze b’e Kansanga mu gombolola ye Makindye mu Kampala, amasanyalaze gakubye abantu 5 omu afiiriddewo abalala baddusidwa mu malwaliro ng’embeera mbi.
Bibaddewo ku saawa nga emu n’ekitundu ezokumakya galeero nga 13 Nune,2025, abakubidwa amasanyalaze babadde basitudde Weema nga bajiggya mu kifo ekimu okujitwala mu kifo ekirala, neeroba mu waya z’amasanyalaze.
Enjega eno egudde okuliraana police ye Kansanga, era abasirikale batuuae bangu okuddusa abakoseddwa mu ddwaliro, wabula omu esanze yakaze dda.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif