Ministry yebyobulamu eweereddwa obuwumbi bwa shs 20 mu mbalirira y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja 2022/2023 , zakusuumusa health center ezisoba 28 eziri ku mutendera gwa HC III okufuuka HC IV.
Ministry yobulamu yadde yali yasaba obuwumbi 51 okusuumusa HC III eziwera 30.
Health center zino kuliko Bulo HCIII mu district ye Butambala ,Kasambya HC III mu district ye Mubende, Mateete HC III mu district ye Ssembabule namalala gano nga gakusuumusibwa gafuuke HC IV.
Eddwaliro lya Lugazi HC IV parliament nalyo eriwadde ensimbi okuliddaabiriza nokuzimbako ‘theatre’ eyomulembe
Parliament yeemu ewadde ministry yebyobulamu ensimbi ezokusuumusa eddwaliro lya Nsinze HC IV efuuke General hospital
Eddwaliro lya Kabwohe ,parliament yaliwadde obuwumbi 2 nekitundu okuliddabiriza
Ministry y’ebyobulamu era eweereddwa Obuwumbi 10 zakugula ebyuma bya CT scan mu malwaliro agatali gamu.
Obuwumbi 3 zakulwanyisa ekirwadde kya kafuba.
Ekitongole kya Gavi ekyavujjiriranga enteekateeka y’okulwanyisa akafuba, egenda kujiyimiriza okutandika omwaka ogujja.