Ekkolero ly’obuveera erya BK construction likutte omuliro ebintu bya bukadde na bukadde bisanyeewo.
Ekkolero lino lisangibwa mu kitundu kye Kabowa mu gombolola ye Lubaga mu Kampala.
Abadduukirize basanze akaseera akazibu okuguzikiza, olw’obukubo obufunda obubadde butasobozesa mmotoka zizikiriza muliro kuyitamu.
Kansala w’ekitundu Male Patrick Njuki agamby nti embeera ebaddewo eraze okusoomozebwa okuli mu bitundu bya Kampala ebiwerako, olw’abantu abazimba nebatalekaawo makubo gegasa agasobola okuyitamu emmotoka okuzikiza omuliro, oba okudduukirirwa singa babeera bafunye obuzibu.
Luke owesigire amyuka ayogerera police mu Kampala n’emiriraano agambye nti abasirikale bakyakola alipoota ku bikwata ku muliro guno ogwabaluseewo mu matumbi budde.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif