Amaka g’obwa president galambise emirimu egirina okukolebwa akakiiko k’etttaka akakolera wansi wa president aka Presidential Taskforce on Land Matters, kubigambibwa nti kabadde kayita wekalina okukoma nga kakola emirimu, n’okweyigiza mu nsonga ezitali zaako.
President Museveni yalonda Brig Gen Moses Lukyamuzi okukulembera akakiko kano, era yakateekawo olw’emivuyo gyettaka egitakoma okwetoloola ebitundu bye ggwanga.
Akakiiko Kano, President Museveni yakayimirizaako mu kusooka olw’abantu okukemulugunyako nti kaali kabasaba ssente okukola ku nsonga zabwe, n’okwekobaana nabaggagga okunyigiriza abatalina nsimbi nebatafuna bwenkanya.
Mu kiwandiiko ekifulumiziddwa amaka g’obwa president kirambise nti akakiiko kano kalina emirimu esatu gyekaakwasibwa okukola ,omuli okuziyiza abantu abesenza muntobazi, okuwaayo abagambibwa okwenyigira mu mivuyo gy’ettaka eri police oba military okukola okunonyereza saako okuziyiza abagezaako okubba ettaka ly’abantu.
State House egamba nti akakiiko ka Brig. Gen Lukyamuzi tekalina buyinza kunoonyereza ku ensonga za ttaka, oba okukwatta abateeberezebwa okwenyigira mu kibba ttaka nekabasiba oba okubavunaana.
Amaka g’obwa president gategezezza nti obuyinza obwo buli eri police, office ya Ssaabawaabi w’emisango gya government n’essiga eddamuzi.
Brig.Gen.Lukyamuzi agambye nti asuubira okwogerako eri bannamawulire ku kiwandiko kino.
Bino webijidde nga akakiiko kano kaliko abantu abawerako bekayabye ku ensonga z’ettaka sso nga era waliwo nabagemulugunyako nti enkola yaako erimu ebirumira.#