Abakuuma ddembe bongedde okuyiibwa ku nsalo ya Uganda esangibwa e Bunagana mu district ye Kisoro, okuziyiza abamenyi bamateeka abayinza okwesogga Uganda nga bakozesa omukisa gw’ababundabunda abaddukira mu Uganda, abadduka olutalo olwabalusewo wakati wa magye ga Congo ne M23.
Emmundu yazeemu okuseka wakati wa magye ga Congo aga FARDC ne M23 ekiviiriddeko abantu ba bulijjo abaweerako okudduka ekibabu ne bajja mu Uganda nga bakoze ensalo ye Bunagana mu Kisoro.
Omuwendo gw’ababundabunda ogwesogga Uganda buli kadde gweyongera, gutuuse ku bantu 657, era nga bakumibwa kunkambi ye Nyakabande transit Centre ne nkambi endala mu Kisoro ne bitundu ebiriranyeewo.
Okusinzira ku mubaka wa president e Kisoro Hajji Badru Ssebyala, abasinga ku babundabunda bano baana bato n’abakyala, era ebitongole ebibudaabuda abantu bibayambako okufuna webabeera.
Akulira okunonyereza ku misango egyenjawulo mu Kisoro Maj Pat Gamukama mu kiwandiiko kyafulumizza agambye nti bongedde amaanyi mukweneenya abayingira muleme kujjiramu bakyamu.#