Ab’obuyinza mu district e Mubende batandise omuyiggo gw’omusajja Mutatina Khalisiti ateeberezebwa okutemula omutuuze Ignitious Nyansio ku kyalo Ngowa ekisangibwa mu gombolola ye Katente.
Ebyakazulwawo biraze nti awenjezebwa Mutatina Khalisiti, yakutte muganziwe n’Omusiguze Kati Omugenzi Nyansio nga bebase mu buliri bwannyini maka ekyaddiridde kwabadde kulwanagana.
Kitegeerekese nti Mutatina abadde akolera mu district ye Kagadi, kyokka okudda awaka teyasoose kulabula yagudde bugwi, kwekugwiikiriza omusiguze mu nju ye.
Omwogezi wa police mu bendobendo lye Mubende, Racheal Kawala ategeezezza nti Mutatina olwamaze okukola ettemu lino nadduka ne mukyalawe, nga mu kaseera kano tebamanyiddwako mayitire.
Omulambo gwa Nyansio gutwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Mubende , nga n’okunoonyereza bwekugenda mu maaso.
Bisakiddwa: Kato Denis