Mu mizannyo gya All Africa Games egiyindira munsi eya Ghana, Misiri eyongedde okwerisa enkuuli mu kuwangula emidaali emingi, nga ekulembedde ensi zonna némidaali omugatte 94.
Misiri yakawangula emidaali gya zaabu 53, egya feeza 21 ate nga egyékikomo giri 20.
Nigeria kati eri mu kifo kyakubiri némidaali 48 okuli egya zaabu 22, 10 gya feeza ate nga 16 gya kikomo.
Algeria eri mu kifo kusatu némidaali 66 wabula nga erina emidaali gya feeza 18 emitono okusinzira ku gya Nigeria, egya feeza 23 ate egyékikomo giri 25.
South Africa yakuuna némidaali 66, Tunisia yakutaano némidaali 43 nabalala.
Uganda eri mu kifo kya 10 némidaali 7 okuli ogwa zaabu gumu gwe yawangudde mu Badminton, egya feeza 3 négyekikomo 3.
Uganda mu mpaka zino ekikiriddwa mu mizannyo egyenjawulo okuli omupiira ogwébigere ogw’abasajja n’abakazi, Cricket, Badminton, okusitula obuzito, Rugby, okuvuga obugaali, okuwuga, Table Tennis némirala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe