Abantu 84 bebaatokomokedde mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka mu nnaku 3 wakati w’ennaku z’omwezi 24.12.2023 ne 26.12.2023, ate 33 baafiiridde mu bubenje obwaguddewo.
Emisango 110 gyegyazziddwa mu nnaku ezo.
Abantu 38 baakubiddwa mu kulwanagana, abantu 3 battiddwa abajambula ba ADF, 6 batemeddwa ,2 baakubiddwa masasi, 8 bafiiridde mu Nyanja,5 battiddwa mu ngeri y’okutwalira amateeka mu ngalo, 4 baakubiddwa obutayimbwa , 8 baabafumise ebiso,8 besse , 2 baatugiddwa.
Abantu 64 bakwatiddwa abe’ebyokwerinda, mu kiseera kino bakuumibwa mu budduukulu obwenjawulo.
Rwenzoori West yeyasinze okubeeramu emisango emingi nga gino gyabadde 11, Kawempe North emisango 10, ate Masaka emisango 9 n’ebitundu ebirala.
Omwogezi wa police mu ggwanga Fred Enanga ategeezezza bannamawulire ku kitebe kya police e Naggulu, nti waliwo abaana 13 e Masaka abaasangiddwa nga bakukusibwa omukyala Nansamba Lusiya eyadduse era awenjezebwa, nga bano babadde batendekebwa mucakamucaka.
Police etegeezezza nti obubenje bubadde butono okugerageeranya n’omwaka gwa 2022.
Akabenje ekaaguddewo ku boxing day mu kkoona lye Towei Kapsindi ku luguudo oluva e Kapchorwa okudda e Mbale, kekaasinze okubeera akamaanyi.
Emmotoka No UBD 074J Prado Land Cruiser yagaanye okusiba, neremerera omugoba waayo neegwa neyefuula, abantu 5 abaagibaddemu baafiiriddewo okuli maama n’abaana 4, abalala okuli ne ddereeva baasimattuse.
Bisakiddwa: Kato Denis