Sipiika wa parliament Anita Among asazeewo ku alipoota y’akakiiko ka parliament akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya government ka Cosase eyava mu kwekeneenya vvulugu ali mu kampuni ya Uganda Airlines nti ssi yakwanjulwa mu parliament.
Agambye nti parliament egenda kugoberera ebyo ebyalambikibwa mu alipoota ga Ssaabalondoozi wa government.
Anita Among sipiika agambye nti alipoota ya Cosase yasomolwa nga tenayanjulwa mu parliament, n’olwekyo parliament tesobola kukubaganya birowoozo ku alipoota eyassomolwa edda.
Kinnajjukirwa nti alipoota eno akakiiko ka cosase akakulemberwa Joel Ssenyonyi munna NUP kagimaliriza mu mwezi gwa October omwaka oguwedde 2022, wabula okuva olwo yalemwa okufuna akakisa okuteekebwa ku lukalala lwebyo ebiteesebwako mu parliament.
Joel Ssenyonyi ssentebe w’akakiiko kano bulijjo yemulugunya ku alipoota okulwawo okufuluma olwa vvulugu eyazuulwa ntambuza y’ekitongole ky’ennyonyi ki Uganda Airlines.
Sipiika akamutemye nti parliament tegenda kugikkiriza kwanjulwa, era ku nsonga ezijikwatako, parliament egenda kwesigama kweyo eyakolebwa ssaabalondoozi w’ebitabo bya government.
Anita Among agambye nti waliwo n’okunoonyereza okukolebwa kwabo abaasomola alipoota eno netuuka mu mawulire nga tenaba kwanjulwa mu parliament,wabula Joel Ssenyonyi yebuuziza nti bwewabaawo okunonyereza ye nga ssentebe w’akakiiko akakwatibwako tayitibwanga okubaako kyayogera.#