Akakiiko ka parliament akalondoola ebyobusuubuzi naamakolero kamalirizza okwekenneenya endagaano y’emmwaanyi government gyeyakola ne musiga nsimbi owa kampuni ya Vinci Coffee company limited.
Akakiiko kano kamaze wiiki namba nga kawuliriza ebirowoozo by’abantu abenjawulo, n’okwekennenya endagaano eno.
Wiiki ejja alipoota eno lwesuubirwa okwanjulwa mu parliament ababaka bajikubaganyeeko ebirowoozo.
Ebimu ku byanjuddwa mu alipoota y’akakiiko kano ababaka gyebatandise okusaako emikono, bakkiriziganyizza nti endagaano eno esazibwemu yonna.
Ensonda mu kakiiko kano zitegezeza nti ababaka bakinogaanyiza nti kimenya amateeka musiga nsimbi okuweebwa enkizo yekka okugereka ebbeeyi y’emmwanyi ,okugula emmwanyi ewatali kuvuganya ,minister w’ebyensimbi okwewa obuyinza obumusonyiwa emisolo n’ebirala.
Ababaka bagala nti bwewabaawo ensimbi zonna ez’okuliyirira musiga nsimbi,abantu kinnoomu abaateeka emikono ku ndagaano ezo bebabeera baziriwa.
Musiga nsimbi ayogerwaako Enrica Pinetti ababaka baakizudde nti talina nsimbi zakuddukanya kirime kya mmwanyi, nti wabula ayagala kusinga ttaka mu bank afunireko ensimbi, so nga nalyo lyamuwebwa government yiika 25 azimbeko ekkolero.
Ssaabawolereza wa government Kiryowa Kiwanuka yasinzidde mu kakiiko Kano kulwokuna lwa wiiki eno,naaagamba nti singa endagaano eno esazibwamu ,Uganda yakuliyirira musiga nsimbi ono ensimbi zonna zanaaba asabye.