Club ya Express mukwano gwabangi erangiridde Alex Isabirye Musongola ng’omutendesi omugya owa club eno, era emirimu gye agitandikiddewo mbagirawo.
Express obubaka bw’okulonda Alex Isabirye ebuyisizza ku mutimbagano kyokka tebogedde bunene bwandagano emuwereeddwa.
Alex Isabirye Musongola azze mu bigere bya James Odoch eyagobeddwa ku mulimu guno nnaku ntono eziyise.
Isabirye agenda kukola ne Hassan Mubiru eyabadde alondeddwa nga omutendesi ow’ekiseera.
Emirimu gya Alex Isabirye Musongola gigenda kutandika n’omupiira gwa nga 08 November,2023, nga Express ettunka ne Villa Jogo Ssalongo bwe batalima kambugu mu kisaawe e Wankulukuku.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe