Gavumenti esabiddwa okwongera amaanyi mu kusomesa abayizi nga eyita ku mitimbagano kuba ly’ekkubo lyokka okukuumira abaana abali ewaka mukumanya mu kiseera ky’omuggalo.
Akulira essomero lya Kampala Parents School Principal Daphine Kato agamba kisaanidde abayizi bonna omuli abali mu massomero ga bonna basome n’agobwanannyini okusigala nga basoma wabula nga kino gavumenti erina okukiteekamu omukono gwaayo nga eyambako amassomero n’ebyetagisa
Kato okwogera bino abadde ku mukolo ogw’okukwasibwa ebyavudde mu bigezo bya P.7 nga abayizi 129 ku 186 abatuula ebigezo omwaka oguwedde bayitidde mu ddaala erisooka nga bafunye bubonero 4 – 6