Wabaddewo akasattiro e Mengo Kisenyi okumpi ne paaka ya taxi, abakolerawo bwebagudde ku kintu ekiteeberezebwa okuba bbomu nebabuna emiwabo.
Ekintu kino kiwalirizza abakulembeze okuyita ekitongole kya poliisi ekitegulula bbomu, era wayise eddakiika mbale nebagya okweekeneenya embeera.
Okusinziira ku Lukwaago Saadi nga Ono ye ssentebe wa Muzaana Zone Kisenyi , ekintu ekibadde kisuuliddwa wabweeru wa paaka eno eteeberezebwa okuba bbomu era abasirikalle batuuse mangu nebakiggyawo embeera nédda mu nteeka.
Amyuka omwoogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwaano Luke Oweyisigire ategeezezza nti basobodde okukola ekisoboka okutuuka amangu okutaakiriza embeera, naasaba enkolagana wakati w’abntu n’ebitongole by’okwerinda okugenda mu maaso, bwewabaawo kyebekengedde bagitemyeko mangu, era ategezezza nti ekintu ekyo bakyakyetegereza.
Mu ngeri yému ebitongole by’okwerinda okwetoloola eggwanga biriko abaana abasoba mu 80 abagiddwa mu bifo ebyenjawulo,nga kigambibwa nti ababadde babalabirira babadde nekigendererwa ekyokubayingiza mu butujju.
Poliisi etegeezezza nti eriko Sheikh Rwangabo omutuuze we Kasengejje gweyigga, eyagitebuse nadduka oluvannyuma lwokumanya nti yetaagibwa abeeko byannyonyola ku baana bano.
Ayogerera poliisi mu ggwanga Fred Enanga, asinzidde Naggulu ku kitebe kya poliisi ekikulu olwa leero nategeeza nti bongedde okufuna obujulizi obuwerako ku Bantu abakyaamu, wabula nga bakyekukumye.
Enanga agambye nti baliko nábantu babiri okuli Isma Kaija ne Muhammed Ssewakiryanga abakwaatiddwa poliisi okuyambako munkunoonyereza, nga kigambibwa babadde bayambako Sheikh Rwangabo okuwandiisa abaana bebayingiza mu bikolwa ebyekko.