
BannaNUP abawerako ababadde bakuuma akalulu ka munnaNUP Simon Toolit Akecha bakwatiddwa ku nsonga ezitanamanyika.
Bakwatiddwa abakwata mmundu, okuli ababadde mu byambalo bya police nababadde mu ngoye ezaabulijjo, ng’abamu bebisse obukookolo.
Abakwate kuliko omubaka wa Busujju David Lukyamuzi Kalwanga , Faridah Nabatanzi ,Peter Maiso nabalala.
Batwaaliddwa ku police ye Omoro.
Emmotoka kamunye ekika kya Drone ennamba UBL 123G mwebabadde bassibwa nebatwalibwa mu bifo ebyenjawulo.
Akulira oludda oluvuganya government Mathias Mpuuga Nsamba alambuddeko ku bakwate, agambye nti Kalwanga ayisiddwa bubi.
Ayogerera akakiiko kebyokulonda Paul Bukenya agambye nti emmotoka ezo akakiiko kebyokulonda tekazimanyi, era nti tekanafuna kwemulugunya kwonna kubizikwatako.
Mu ngeri yeemu ekibiina kya National Unity Platform kyekubidde omulanga eri ssentebe w’akakiiko k’ebyokulonda omulamuzi Simon Byabakama Mugenyi, nga bagamba obubbi bw’akalulu bweriisa nkuuli mu gombolola ye Lakwana ne Akid mu district ye Omoro.
Akulira oludda oluvuganya government mu parliament Mathias Mpuuga Nsamba yakuliddemu ttiimu yabannakibiina kya Nup abakuuma akalulu ka munnaNUP Simon Toolit Akacha.
Batutte okwemulugunya kwabwe eri ssentebe w’akakiiko kebyokulonda omulamuzi Simon Mugenyi Byabakama naye ali mu kitundu ekyo.
Mathias Mpuuga Nsamba ategezeza ssentebe wa Uganda electoral Commission nti abebyokwerinda mu gombolola ezo bagaanye bannaNUP abasindiikiddwayo okukuuma akalulu ,okutuuka mu bifo ebironderwamu ,songa waliwo nabantu abatamanyiddwa mu bifo ebyo abakkiriziddwa okulonda
Mu kiseera kino abantu be Omoro balonda mubaka wabwe, anadda mu kifo kyéyali sipiika Jacob Oulanyah eyafa gyebuvuddeko, wabula ngébifo ebironderwamu bikyalimu abantu bamuswaba.
Abavuganya mu kalulu ke Omoro kuliko Odongo Terence atalina kibiiina kwajidde, Onen Jimmy Walter naye talina kibiina,Toliit Simon wa NUP, Andrew Ojok Oulanyah owa NRM, Kizza Oscar wa ANT, FDC ereese Justin Odongo.