Akakiiko kébyókulonda aka Uganda electoral Commission wiiki ejja ku bbalaza lwekalangirira enteekateeka zókuddamu okulonda omubaka omuggya owéssaza lye Omoro ekibaddemu omugenzi Jacob Oulanyah.
Omwogezi wa Electoral Commission Paul Bukenya agambye nti essaawa eno tebalina nsonga zonna zebasobola kulambulula ku byókulonda okwo okutuusa ngókuziika omugenzi kuwedde,
Wabula waliwo ekiwandiiko ekibadde kiyiti𝝶ana nga kiraga, nti okulonda kwakubaawo ng’ennaku z’omwezi 26 May,2022, okujjuza ekifo kyómubaka wa parliament owa Omoro.
Olunaku luno lulambikiddwa mu kiwandiiko ekiteekeddwako omukono gw’omuwandiisi w’akakiiko k’ebyokulonda Leonald Mulekwa, ekigambibwa nti kiweerezeddwa eri ebibiina byobufuzi okweteekerateekera okulonda okwo.
Jacob Oulanya yaffa ng’ennaku z’omwezi 20 march,2022, mu kibuga Seattle ekya United States of America, ekyaleka essaza lye Omoro nga teririna mubaka alikiikirira.
Etteeka eriru𝝶amya ebyokulonda mu parliament liragira akakiiko kebyokulonda okuteekateeka okuddamu okulonda okujjuza ekifo ekiba kisigadde nga kikalu, mu bbanga lya nnaku 60 okuva ekifo ekyo lwekisigadde nga kikalu.
Ensonda mu kakiiko kebyokulonda zitegezezza nti ebibiina byobufuzi bwebyabadde biweebwa ekiwandiiko ekyo, byakugiddwa obutafulumya kiwandiiko kino, okutuusa ng’okuziika omugenzi Jacob Oulanyah kuwedde kireme kutaataaganya kuziika.
Bino webijjidde ngábantu abawerako baatandise dda okwesowolayo okuvuganya ku kifo ekyo, era abamu ku booluganda lwa Oulanyah nabakulembeze okuva mu Acholi, baawuliddwako nga bagamba nti bagala omu ku baana ba Jacob Oulanyah yaaba addira kitaawe mu bigere ng’omubaka wa Omoro.
Jacob Oulanyah ekisanje kino ekya parliament eye 11 abadde yakakimalamu emyezi mwenda gyokka, wabula nga mu parliament abaddeyo okuva mu 2001.
Jacob Oulanyah abadde sipiika wa parliament eye 11, era ngábadde omumyuka we Anita Among yeyamudidde mu bigere.
Kino kyakoleddwa nga bagoberera etteeka lya ssemateeka wéggwanga 84 akawaayiro 2,erikugira parliament okutegeka olutuula lwonna ngékifo kya sipiika kisigadde kikalu.
Jacob Oulanyah wakuziikibwa olunaku olwénkya ku kyalo Lalogi mu district ye Omoro.