Akakiiko akalwanyisa obulyake n’obukenuzi mu maka g’obwa president aka Presidential Anti Corruption Unit akakulemberwa Lt.Col Edith Nakalema, kakutte nnyini kitongole kya Hands Across the world ekigambibwa okozesebwa okubba abasumba gyebuvuddeko.
Akwatidde ye Arinaitwe Jimmy nga akwatiddwa bambega mu kakiiko kano oluvanyuma lwe Banga nga anoonyezebwa.
Ekitongole kya Hands Across the world kyekigambibwa okozesebwa Omusumba Siraje Ssemanda okulimbalimba abasumba nabanyagako ensiimbi ezisuka mu buwumbi 4, nga abasubiza emirimu mu operation wealth creation nokubatwala eri president Museveni.
Arinaitwe Jimmy akwatiddwa na bamu ku Bantu abawandika abantu mu kitongole kye, era bano bakutwalibwa mu mbuga za mateeka banyonyoole.
Kinajukirwa nti akakiiko kano kaze kakunya abantu bangi omuli Catherine Kusasira,Omusumba Mondo Mugisha ,ku bigambibwa nti baliba abasumba ne babajjako sente zabwe .