Abantu babiri bafiiriddewo n’abalala babiri baddusiddwa mu ddwaliro nga bali bubi, mu kabenje ka mmotoka akagudde ku Kyalo Kitigoma mu Njeru municipality mu district ye Buikwe, ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.
Abafudde kuliko ddereeva n’omuyambi we ababadde bavuga Fuso No.UBB 716F etomereganye n’emmotoka esaabaza amafuta No. UAY 077A/UAY 928A.
Okusinziira ku mwogezi wa police mu bitundu bya Ssezzibwa Hellen Butoto, okunoonyereza kwebaakakola kulaga nti mmotoka ya FUSO ebadde eva e Jinja evudde ku mukono gwayo, n’esala neyingirira lukululana y’amafuta ebadde eva e Kampala nezitomeregana bwenyi ku bwenyi.#