Omuntu omu afiiriddewo mbulaga ng’ono yabadde ddereeva w’emmotoka ya taxi Number UBG 572K egudde neyefuula emirundi esatu, abalala ababaddemu bapooca na biwundu.
Akabenje kano kagudde ku kyalo Kalamira ku luguudo oluva e Mbale okudda e Iganga.
Aberabiddeko ku kabenje kano bategezezza nti omugenzi ye Yusuf Mawagale, nga mu taxi abaddemu n’abantu abalala munaana bonna bakoseddwa nnyo nebaddusiddwa mu ddwaliro e Namutumba.
Rdc we Namutumba Matende Thomas agambye nti endiima yeviiriddeko akabenje kano, nalabula abagoba b’ebidduka okubeera abegendereza naddala mu nnaku enkulu ezisembedde.