Police ye Kakiri etandise okunoonyereza ku musajja gw’ekutte Mesach Ssekanjako ow’emyaka 40, mutuuze w’ e Mulume-Nsinzi Masuliita mu district ye Wakiso agambibwa okutta mukaziwe ng’amulanga okumulemesa okutunda amaka gabwe.
Abatuuze basanze omulambo gw’omukyala ng’atemudddwa, nebayita Police y’e Kakiri ngeri wamu neye Masuliita ezireese embwa ekunga olusu.
Gyebiggweredde bba w’omugenzi Ssekanjako Mesach, maamawe n’omukazi omulala ategeerekeseeko erya Nanfuka bakwatiddwa bayambeko police mu kunoonyereza ku Ttemu lino, era omulambo gutwaliddwa mu ggwanika e Mulago okwekebejjebwa.
Omugenzi ye Nakyanzi Proscovia Namusisi emyaka 28 era kitegeerekese nti omusajja ono azzenga yewera okumutta olw’esunguyira ly’abadde nalyo gyali, nti kubanga yali yamusibisa mu kkomera oluvanyuma lw’okukakana ku mulamuwe Namata Flavia namukuba emmiggo emizibu okwo kwoteeka n’okumulemesa okutunda awaka..
Ssentebe we kyalo Mulume -Nsinzi, Kalule Raban avumiridde ekikolwa ky’omusajja ono okutta mukaziwe nti kyokka era bategeezezza nti omugenzi amaze ebbanga ngagugulana ne bba .
Maama w’omugenzi Margrete Nakiboneka asabye government evunaane Ssekanjako era emuwe ekibonerezo ekisinga olwokutta muwalawe nti kubanga amaze ebbanga ng’amwewerera okumutta era nakituukiriza.
Bisakiddwa: Kawuma Masembe