Bya Lubega Muda
Mutabani weyaliko omumyuka wa president era Ssaabaminister wa Uganda owokutaano Dr. Samson Kisekka Mululu, nga ye Paul Migadde asazeewo kuddukira wa president Museveni ngayagala ayingire mu nsonga zébyamaguzi bye byagamba nti byabula mu ngeri gyataategeera mu 2017.
Paul Migadde nga awangalira mu United States Of America agamba nti yaleeta ebyamaguzi ebibalirirwamu obukadde bwa dollar za America $ 2.4m , wabula okuva lweyabireta yalemererwa okubifuna newankubadde yasasula omusolo ogwamulambikibwa n’e misoso gyonna emirala.
Migadde ategezezza cbs nti yaleeta container z’e bintu 4 eziweza fuuti 40, nga kampuni ya Kenfrieght Uganda Limited esangibwa e Bweyogerere gyeyabitikka.
Agamba nti mwalimu emifaliso,ebitanda, mmotoka ekika kya ford ,ebintu ebikozesebwa mu mulamu obwabulijjo,n’ebirala.
Migadde agamba nti agezaako okutuukirira abakulu mu URA, abakampuni ya Kenfreight Uganda Limited beyabitikka, saako n’akakiiko akalwanyisa enguzi akakulemberwa Brig Gen Henry Isoke, ne bitongole ebirala ayambibwe naye tanafunayo kalungi.
Agamba nti singa ensonga ze president Museveni aziyingiramu osanga ayinza okuyambibwa okuzuula ebintu bye.
Eby’amaguzi by’anoonya byabula mu 2017.
Okusinziira kw’ayogerera ekitongole ky’emisolo ekya URA Ibrahim Bbosa akyali omupya mu kitongole kino, ensonga z’omukulu ono abadde tanaba kuzimanyako.