Mayiga Joseph omuvuzi wa bodaboda mu ka town k’e Bukunda ku luguudo oluva e Masaka okudda e Kyotera, yeyakwatiddwa mu katundu ky’e Kalagala mu Rakai ng’agambibwa okubeera mu kabinja akabba bodaboda mu bitundu by’e Kyotera, Rakai n’ebitundu ebirala ebiriranyeewo.
Abatuuze bamukubye emiggo n’ensamba ggere, era police yeyatuuse n’emutaasa n’atwalibwa mu ddwaliro ly’e Kaliisizo okufuna obujanjabi ng’ali ku mpingu eyasibiddwa ku kitanda, wabula yalabirizza abasirikale n’abasawo nga bebulunguddemu, n’amenya ekitanda n’asikako empingu n’adduka nayo.
Wabula waliwo abatuuze abamulabye nga yekukumye mu kibira kye Namagoma mu Kyotera nebatemya ku police ezze n’eddamu okumukwata.
Omuduumizi wa police e Kyotera Hassan Musooba agambye nti basazeewo bamujanjabire ku kitebe police, nti kubanga ayinza okuddamu okutoloka so nga balina okumuggyamu obujulizi obuwera, nga kigambibwa nti alina abantu abalala babadde akolagana nabo mu Kampala gyebabadde batunda police zebabeera babbye.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi