Abatuuze be Namanzaali mu gombolola ye Mazuba e Namutumba baguddemu enkyukwe, mutuuze munnabwe Antony Kavuma akubiddwa amasanyalaze nafiirawo.
Kigambibwa nti Kavuma abadde asika amasanyalaze okuva ku kikondo, agayingize mu kibanda kya filimu negamukuba era tavuddewo.
Sentebe we kyalo kino Mugulwa James agambye nti abatuuze abalina omuze gw’okubbirira amasannyalaze ku bikondo beyongedde, nga n’abamu bagayisa mu ttaka.
Bisakiddwa: Kirabira Fred