Ateeberezebwa okuba omusumba w’abalokole ategerekese nga Pastor Daniel Naheirwe abadde agenze ku kyalo Wanjuki, ekisangibwa mu gombolora ye Lwabiyata mu district ye Nakasongola okwokya ebyawongo afiiriddeyo.
Kigambibwa nti Omusumba Naheirwe abadde agenze mu maka ga Jesca Kyoherwe eyamuyise okwokya ebyawongo ebibadde bibatawaanya nga babikooye, nti wabula olubikumyeko omuliro n’atalantuka naagwa bagenze okumukwatako nga yafudde.
Omwogezi wa police mu bitundu ebyo Sam Twinamazima agambye nti okunoonyereza kwebaakakola kulaga nti omugenzi abadde amaze ekiseera ng’abantu bamuyita okubookera ebyawongo, nti wabula ku mulundi guno tebamanyi kyamuviiriddeko kufa.
Omulambo gwe gugyiddwayo negutwalibwa mu ddwaliro mu ddwaliro lya Nakasongola H/C IV okwongera okugwekebeggya.
Omusumba atwala abasumba babalokole mu district ye Nakasongola Enock Kiganda alabudde abalokole baayo okwewala abasumba ababasaba sente ngababalimbalimba nti bagenda kubayambako okwokya ebyawongo byabwe.
Abalabudde okubeewala nti kubanga ekanisa y’abalokole tekkiririza mu kwokya byawongo, era n’ategeeza nti buli akikola abeera tagoberedde kulambika kwa Bayibuli.
Bisakiddwa: Conslata Taaka