Police ku kizinga kye Bubeke mu bizinga bye Ssese ekutte omuvubi Joseph Musanje 28, kubigambibwa nti yafumise munne Byakatonda Gasule ekiso mu liiso, n’okumusala omumwa, nga bakaayanira mukene.
Mukene eyabatabudde aweza ttani bbiri n’ekitundu.
Philemon Kayondo omu kubakulembeze ku mwalo gwe Bubeke agambye ettemu lisusse mu kitundu kyabwe, nga liva kukukozesa ebitaamiiza ebisusse saako ebiragalalagala ebitali bimu, n’abavubi abasinga okuba nga tebakyalina byakola olw’amagye okubagoba ku nnyanja.
Byakatonda agiddwayo ku bizinga n’atwalibwa mu ddwaliro e Masaka okwongera okufuna obujanjabi.
Ebikolwa eby’ettemu bikyaase nnyo naddala ku mwalo guno ogwe Lwazi – Bubeke nga mu January w’omwaka guno waliwo munansi Omunarwanda eyafumita munne ekiso n’amutta, so nga ate waliwo n’omusajja eyakira mukyala we n’amutta mu mwezi gwegumu.
Bisakiddwa: David Ssekayinga