Amawanga 21 gegakakasiddwa okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubeerawo omwaka ogujja 2024 mu Ivory Coast.
Amawanga 3 gegabulayo okuweza omugatte gwa 24 agasuubirwa okuzeetabamu.
Empaka zino zitandika 13 January okutuuka nga 11 February,2024.
Amawanga agamaze okuyitawo kuliko abategesi aba Ivory Coast, Morocco, Algeria, South Africa, Senegal, Burkina Faso, Tunisia ne Misiri.
Endala kuliko, Zambia, Equatorial Guinea, Nigeria, Guinea Bissau, Cape Verde, Mali Guinea, Ghana, Angola, Tanzania, Mozambique, Mauritania ne DR. Congo.
Uganda yalemereddwa okukiika mu mpaka zino oluvanyuma lw’okukwata ekifo eky’okusatu mu kibinja F n’obubonero 7. Algeria yakulembedde ekibinja kino n’obubonero 16 ne Tanzania eyakutte ekifo eky’okubiri n’obubonero 8 bebayiseewo.
Empaka za Africa Cup of Nations ezigenda okubeera mu Ivory Coast zigenda kubeera za mulundi gwa 34 okuva lwe zatandika mu 1957.
Ivory Coast egenda kutegeka empaka zino omulundi ogw’okubiri, nga yasooka kuzitegeka mu 1984.
Senegal yeyawangula empaka ezasembayo ezaali e Cameroon mu 2022, era yaziwangula omulundi ogwasookera ddala.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe