Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, alangiridde ttiimu yabazannyi 30 okutandika okwetegekera emipiira 2 nga ettunka ne Tanzania Taifa Stars mu mpaka z’okusunsulamu amawanga aganakiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2024.
Ttiimu eyitiddwa egenda kutandika okutendekebwa wiiki ejja.
Uganda omupiira gwayo ogusooka ne Tanzania egenda kugukyaliza Misiri mu kisaawe kya Suez Canal Authority Stadium mu kibuga Ismailia, nga 24 march, 2023, olw’okuba nti Uganda terina kisaawe kitukana namutindo.
Oluvanyuma lw’omupiira ogwo, wajja kuyitawo ennaku 4, Uganda Cranes ekyalire Tanzania mu kibuga Dar el Salaam.
Uganda Cranes era yakuzannya omupiira ogw’omukwano ne ttiimu eyawamu eya Kitara Region munteekateeka ya Cranes Regional Tour nga 17 omwezi guno ogw’okusatu mu district ye Bundibugyo.
Abazannyi okuli omukwasi wa goolo Salim Jamal azannyira e South Africa ne Joseph Ochaya azannyira e Misiri bakomezeddwawo ku ttiimu eno.
Abalala ye Steven Mukwala azannyira e Ghana, Charles Lukwago azannyira mu Ethiopia, Timothy Awanyi azannyira mu Isreal, Allan Okello wa KCCA, Steven Sserwadda azannyira mu America n’abalala.
Uganda Cranes emipiira 2 gye yakazannya mu mpaka zino, yakakunganyamu akabonero 1, Algeria ekulembedde ekibinja kino F n’obubonero 6, Niger obubonero 2 ate Tanzania akabonero 1.
Empaka za Africa Cup of Nations zakubeerawo mu January ne February 2024 mu Ivory Coast.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe