President wékibiina ekiddukanya omupiira mu Uganda ekya FUFA, Eng Moses Magogo, asabye bannayuganda okuwagira enteekateeka ya Uganda gyérina eyókutegeka empaka za Africa Cup of Nations ezómwaka 2027.
Uganda ng’ekolaganira wamu ne Kenya ne Tanzania, baateekamu okusaba kwabwe eri CAF okuweebwa omukisa ogwókutegeka empaka zino, munteekateeka gyebatuuma East Africa Pamoja Bid.
Eng Moses Magogo ayogeddeko eri bannamawulire webatuuse kunteekateeka eno, nagamba nti alina akukkiriza nti webunatukira mu 2027, Uganda ejjakuba ekoze byonna ebyetagisa empaka zino okubeera wano, nti era banayuganda batekedwa okuwagira ensonga eno.
Moses Magogo gambye nti ekibinja kya CAF ekigenda okulambula emirimu egikolebwa Uganda, Kenya ne Tanzania okuteekateeka empaka zino, kigenda kujja mu Uganda okuva nga 28 ne 29 era bateeseteese bingi ebyókulambuza akakiiko kano.
Ebifo ebigenda okulambulwa kuliko eddwaliro lye Mulago National Referral hospital.
Woteero ya Sheraton Hotel ne Kampala Serena Hotel.
Ebisaawe by’okutendekebwamu okuli Kampala International School Uganda (KISU), Muteesa II Stadium Wankulukuku, Denver Godwin Stadium, St. Mary’s Stadium Kitende nr Nakivubo Stadium.
Ebisaawe eby’okusambiramu empaka za AFCON okuli Mandela National Stadium, n’ebibiri ebisuubirwa okuzimbibwa e Lira ne Hoima.
Bagenda kulambula ekisaawe ky’ennyonyi Entebbe, n’ekya Kabalega Airport ezimbibwa e Hoima.
Eng Moses Magogo akinogaanyizza nti alina essuubi ddene nti bakuwebwa omukisa ogwókutegeka empaka zino olwókuba CAF essa nnyo essira ku mawanga agatategekanhako.
Uganda, Kenya ne Tanzania, mu kusaba okutegeka empaka zino bavuganya ne Algeria, Senegal, Nigeria ne Botswana.
Amawanga 18 gegaakategeka empaka za Africa Cup of Nations bukyanga zitandika mu 1957.
Rmpaka za mirundi 2 zokka ze zakategekebwa nga ensi zikolaganira wamu okuli empaka za 2000 ezategekwa Ghana ne Nigeria némpaka za 2012 ezategekebwa Gabon ne Equatorial Guinea.
Bisakiddwa: Issah Kimbugwe