Ng’ebula saawa busaawa okutuuka ku mpaka ez’omupiira ogw’ebigere eza Africa Cup of Nations ezitandika ku Saturday nga 13 January,2024 mu Ivory Coast, munnansi wa Misiri Ahmed Hassan ne munnansi wa Cameroon Rigobert Song be bakyasinze okukiika mu mpaka zino emirundi emingi.
Bano bombiriri baagenda okuwummula nga bazannye mu mpaka zino emirundi 8 buli omu.
Bombiriri batandika okuzannya mu mpaka zino mu 1996, 1998, 2000, 2002, 2004, 2006, 2008 ne 2010.
Wabula captain wa Ghana, Andre Ayew, alina omukisa okwenkanya likoda eno singa anazannya mu mpaka za 2025.
Werutukidde olwaleero nga Ahmed Hussan yalondeddwa ku bwa ambassador bw’ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ekya CAF ate nga Rigobert Song ye mutendesi wa Cameroon.
Empaka za Africa Cup of Nations eza 2024 zigenda kubeera za mulundi gwa 34 nga zitegekebwa, era abategesi aba Ivory Coast be bagenda okuggulawo nga battunka ne Guinea Bissau kusaawa 5 ez’ekiro.
Senegal yeyawangula empaka ezasembayo mu Cameroon.
CBS FM egenda kukuweereza empaka zino butereevu.
Bisakiddwa: Isah Kimbugwe