Ebisaawe 6 bye bigenda okuzannyibwamu ttiimu ezenjawulo mu mpaka ez’omupiira ogw’ebigere ezisinga ettuttumu ku semazinga Africa eza Africa Cup of Nations ezibindabinda.
Empaka zino zigenda kutandika nga 13 omwezi guno ogwa January okutuuka nga 11 February 2024 mu Ivory Coast.
Ebisaawe ebigenda okukozesebwa kuliko Alassane Ouattara stadium ekituuza abantu emitwalo 6.

Alassane Ouattara Stadium kisangibwa mu Abidjan kyaggulwawo mu 2020. Era kimamyiddwa nga Olympic Stadium of Ebimpé oba National Stadium of the Ivory Coast.

Felix Houphouet Boigny ekituuza abantu emitwalo 3 mu enkumi 3, nga byonna bisangibwa mu kibuga ekikulu Abidjan.

Ekisaawe kya Stade De La Paix ekisangibwa mu kibuga Bouake kituuza abantu emitwalo 4.
Stade De La Paix kyazimbibwa mu kwetegekera ekikopo kya AFCON 1984.

Ekisaawe kya Amadou Gon Coulibaly ekisangibwa mu kibuga Korhogo ekituuza abantu emitwalo 2.

Ekisaawe kya Laurent Pokou kituuza abantu emitwalo 2 ekisangibwa mu kibuga San Pedro.
Laurent Pokou mwemugenda okuzannyibwa ttiimu z’ekibinja F omuli Morocco, Tanzania,Zambia ne Democratic Republic of Congo.

Ekisaawe kya Charles Conan Banny kituuza abantu emitwalo 2 kisangibwa mu kibuga Yamoussoukro.
Empaka za Africa Cup of Nations zino za mulundi gwa 34 nga zitegekebwa, amawanga 24 gegagenda okuvuganya.
Senegal yeyawangula empaka ezasembayo mu Cameroon, kyokka Misiri yekyasinze okuwangula empaka zino emirundi emingi giri 7.
Bisakiddwa: Issa Kimbugwe