Omutendesi wa ttiimu y’eggwanga ey’omupiira ogw’ebigere eya Uganda Cranes, Milutin Micho Sredojevic, akinoganyiza nti abazannyi ba ttiimu bali mu mbeera nnungi ddala nga betegekera okuzannya ne Niger.
Bazannya lunaku lwankya olw’okusatu mu mpaka z’okusunsulamu amawanga agagenda okukiika mu mpaka za Africa Cup of Nations ez’omwaka ogujja 2023 mu Ivory Coast.
Omutendesi Milutin Micho ngaali wamu ne captain wa ttiimu eno, Emmanuel Arnold Okwi, bogeddeko eri banamawulire ku kitebe kya FUFA e Mengo, bagambye nti okuviira ddala ku batendesi okutuuka ku bazannyi bagenda kukola ekisoboka okuwangula Niger nga besigama ku buwagizi bwa banayuganda.
Uganda Cranes egenda kuzannya ne Niger mu kisaawe kya St Mary’s e Kitende ku ssaawa 10 ez’olweggulo, era guno gugenda kubeera mupiira gwa Uganda ogw’okubiri mu mpaka zino oluvanyuma lw’okukubwa Algeria goolo 2 – 0 ku lw’omukaaga oluwedde.
Uganda ebadde yasembayo okuzannya ne Niger omwaka oguwedde 2021 mu mupiira ogw’omukwano era Uganda n’eguwangula goolo 3-0.
Mu 2018 mu mupiira ogw’omukwano Niger yawangula Uganda goolo 2-1.
Mu 2014 era mu mupiira ogw’omukwano Niger yawangula goolo 2-0.
Mu 2008 mu World Cup qualifiers Niger yawangula Uganda goolo 3-1 ate era mu mwaka gwe gumu Uganda n’ewangula Niger mu mpaka ze zimu goolo 1-0.
Mu 2006 Uganda yakuba Niger goolo 3-1 n’amaliri aga 0-0 mu mpaka za AFCON qualifiers.
Uganda Cranes erwana okukiika mu mpaka za AFCON omwaka ogujja oluvanyuma lw’okulemererwa okukiika mu mpaka ezisembyeyo ezaali e Cameroon mu 2021.
Uganda yakika mu mpaka za AFCON 2019 ne 2017 oluvanyuma lw’emyaka 38 nga tekiika, kuba yali yasembayo mu 1978.
Bisakiddwa : Issah Kimbugwe