Ttiimu y’eggwanga lya Nigeria ey’omupiira ogw’ebigere The Super Eagles, etandise na maliri mu mpaka za Africa Cup of Nations eziyindira mu Ivory Coast.
Nigeria egudde maliri ne Equatorial Guinea ga goolo 1-1, nga omupiira guno guzannyiddwa mu kisaawe kya Alassane Ouattara stadium mu kibuga Abidjan.
Equatorial Guinea yesoose okuteeba ng’eyita mu muzannyi Ivan Edu Salvador mu dakiika eya 36, ate Nigeria n’egatta omupiira guno ng’eyita mu muzannyi wa Africa ow’omwaka oguwedde 2023 Victor Osimhen mu dakiika eya 38.
Omupiira guno Nigeria egwefuze ebitundu 51% ate Equatorial Guinea ebitundu 49%.#