Omupiira wakati wa Ivory Coast ne Guinea Bissau gugguddewo empaka z’ekikopo kya Africa 2023, oguzannyibwa mu kisaawe kya Alassane Ouattara Stadium mu kibuga Abidjan, kiituuza abantu emitwalo 60,000.
Goolo za Ivory Coast ziteebeddwa Seko Fofana ne Jean Philippe Krasso.
Fofana omupiira ogw’ensimbi agucangira mu Saudi Arabia mu Club ya Al Nassr.
Ivory Coast empaka zino ezitegese omulundi ogw’okubiri, yasooka kuzitegeka mu 1984.
Ivorycoast era era yakaziwangula empaka zino emirundi 2 mu 1992 ne 2015.
Empaka zino zijjakuddamu okuzannyibwa ku sunday nga 14 January,2024 n’emipiira 3, nga Nigeria yakuzannya ne Equatorial Guinea kusaawa 11 ez’olweggulo, Misiri ne Mozambique kusaawa 2 ez’ekiro ate Ghana ettunke ne Cape Verde kusaawa 5 ez’ekiro.
Amawanga 24 gegavuganya mu mpaka zino.
Senegal yeyawangula empaka ezasembayo mu 2021 ezaali e Cameroon.
Omuwanguzi w’empaka zino agenda kufuna obukadde bwa doola ya America 7, bwe buwumbi nga 26 obwa shs za Uganda.#