Abamu ku booluganda lwabasirikale ba UPDF abattibwa bannalukalala ba Al Shabab mu Somalia bakukulumidde government ya Uganda, olw’obutabakwasizaako okulondoola omugabo gw’abaana babwe abaattibwa, songa yeyabasindika e Somalia.
Nga 26 May,2023 abajaasi ba UPDF abasoba mu 50 battibwa bannalukalala ba Al Shabab mu bulumbaganyi bwebaakola ku nkambi ye Bulo Marer mu kitundu kye Lower Shabelle ewaali amagye g’omukago gwa ATMIS (African Union Transition Mission in Somalia) agakuuma emirembe mu Somalia.
Ssebbowa Elias taata wa w’omugenzi Mwanje Sofian omu ku basirikale abaafiira mu bulumbaganyi obwo, agambye nti okuva omwana we lweyaziikibwa, teri mujaasi yenna yadde omukulu mu magye eyaali azeeyo okusisinkana abooluganda okubayambako okulondoola ensimbi ezirina okubaliyirira olw’abaana baabwe abaafa.
Omwogezi wa UPDF Brig General Felix Kulaigye agambye nti ssi buvunanyizibwa bwa government ya Uganda okuliyirira abajaasi abafiiridde mu Somalia, wabula buvunaanyizibwa bwamukago gwa African Union.
Mu June wa 2023 government ya Uganda yategeeza nti omukago gwa ATMIS gwali gusuubizza okuliyirira ab’oluganda lw’ajaasi abaattibwa n’abaalumizibwa mu bulumbaganyi obwo, nga bakufuna obuwumbi bwa shs 10.
Kulaigye abagumizza nti ensimbi ezo bwezinaaba ziweerezeddwa bakuzifuna, wadde nga tebasuubira nti bonna abalina okuliyirirwa baakuzifuna omulundi gumu.#