Ab’oluganda 4 bafiiridde mu nnabbambula w’omuliro akutte ennyumba mwebabadde basula, ku kyalo Buyoboya mu gombolola ye Bulange district ye Namutumba.
Abafudde ye Ezimavesi Were ow’emyaka 30, mukyala we Annet Namuyanga 25, n’abaana babwe
Babirye Judith myaka 10 ne Sylivia Baamukisa myaka 4.
Abatuuze bagamba nti abagenzi babadde basula mu nnyumba ya Ssubi ekiviiriddeko omuliro okusaasaana amangu, essaawa zibadde nga mwenda ez’ekiro.
Police ezze neggyayo emirambo, wabula ng’ekivuddeko omuliro tekinategeerekeka.
Bisakiddwa: Kirabira Fred