Ab’oluganda 2 abafiiridde mu kinnya kya Kabuyonjo kuliko Nakimera Margret wa myaka 30 ne mmwannyina Ssempijja Yonasaan myaka 50 babadde batuuze be Kannyaanda mu gombolola ye Makulubita mu district ye Luweero.
Omwogezi wa police e Luweero Sam Twinamazima ategeezezza nti okunoonyereza kwebaakakola kulaze nti Nakimera abadde omukozi waawaka mu maka ga Faith Nalwanga, yabadde agenze kutyaba nku wabula n’atakomawo waka.
Nalwanga yaddukidde eri ssentebe w’ekyalo nebatandika omuyiggo, kwekusanga nga yagudde mu kinnya kya kabuyonjo ekibadde kibikkiddwako essubi.
Mmwanyina wa Nakimera nga ye Ssempijja Yonasaan olumulengedde mu kinnya kwekugezaako ayanguwe akkeyo amutaase, wabula naye bakanze kulinda nga tebalaba bwadda naye ng’afiiriddeyo.
Police eyitiddwa n’eggyayo emirambo negitwalibwa mu ddwaliro ekkulu e Luweero okwongera okwekebeggyebwa.#
Bisakiddwa: Ttaaka Conslata