Kooti enkulu egobye omusago gwa munna NUP Fred Nyanzi Ssentamu gwe yawawabira Muhammed Nsereko nga amulanga okutiisatiisa abalonzi be n’okukyusakyusa ebyava mu kulonda ku kifo ky’omubaka wa Kampala Central.
Ensala y’omulamuzi Jesse Byaruhanga eraze nti Nyanzi tabadde nabujulizi bukakasa byonna bye yaloopa.
Mu ngeri yeemu, Kooti enkulu mu Kampala ekkakasiza Fabrice Brad Rulinda ku kifo kya Meeya w’ekibuga Ntebe omutuufu,oluvannyuma lw’okuwangula omusango ogwamuwabirwa Vicent Kayanja De Paul nti yali yabba akalulu.
Ensalawo y’omulamuzi Jesse Byaruhanga esomeddwa omwogezi wesiga eddamuzi Jameson Kalemani,eraze nti omuwaabi yaelemererwa okuleeta obujulizi obulaga nti Rulinda yabba akalulu akaakubwa nga 25 January,2021.
Wabula Kayanja Depaul agambye nti tagenda kupondooka agenda kujulira ensala ya kooti enkulu.
Bisakiddwa: Kakooza GeorgeWilliam ne Betty Zziwa