Ababaka boludda oluvuganya government mu parliament bekandazze ne bafuluma parliament, nga bemulugunya olw’ebitongole by’okwerinda okukwatanga bannabwe, government netavaayo kubaako kyennyonyola.
Ababaka abali ku ludda oluwabula government nga bakulembeddwamu omubaka wa Butambala Muwanga Kivumbi era akoze ng’akulira oludda oluvuganya government , babadde bagala minister w’ebyokwerinda asooke annyonyole ekya government okukwata abakulembeze babwe n’abawagizi ba NUP abalala abaabadde bategese okusaba e Kamwokya ku lunaku lw’amefuga ga Uganda.
Aba NUP baabadde bategese okukozesa olunaku luno okusabira bannabwe abazze battibwa, abali mu makomera n’abalala abatulugunyizibwa olw’ebyobufuzi, wabula ab’ebyokwerinda tebaabaganyizza era abamu baakwatiddwa.
Muwanga kivumbi ategeezezza Sipiika ne parliament yonna nti ab’oludda oluwabula government emirundi mingi bazze batulugunyizibwa abebyokwerinda, abamu nebasibwa nabalala okuttibwa nti naye nga government tevaayo mu bulambulukufu okunyonyola mu mbeera eno.
Wabula wadde ebyo byonna Muwanga kivumbi abyogedde , ye omumyuka w’omukubiriza wa parliament Thomas Tayebwa akalambidde namutegeeza nti teyasoose kumutegeeza nti betaaka okunyonyolwa okuva eri minister we by’okwerinda oba okuva eri government, era nti abadde tasobola kukiteekesa mu nkola mu budde obwo obutono.
Muwanga Kivumbi asazeewo okulagira banne bakulembera nebekandagga nebafuluma parliament.
Amyuka sipiika wa parliament Thomas Tayebwa asazeewo kugenda mu maaso ng’akubirizza olutuula.
Tayebwa ategezezza nti eky’okwekandagga ne bagenda ebweru tekirina kyekigenda kugonjoola,nti okuggyako balina kukomawo mu parliament bafune okuddibwamu mu kiseera ekituufu.
Agambye nti omuntu waddembe okufuluma parliament oba okuyingira nga bwaba ayagadde nti naye abadde tasobola kusazaamu lutuula, bwerutyo nerugenda mu maaso okutuusa waluggaddewo.
Bisakiddwa: Ssebadduka Johnpaul