Bannabibiina byobufuzi ku ludda oluvuganya government bakungaanidde ku kitebe kya NUP e Makerere Kavule, okusabira Uganda okuggwamu ebikolwa eby’okulinnyirira eddembe ly’obuntu, abantu ababuzibwawo ab’ebyokwerinda nebatatwalibwa mu kooti z’amateeka n’ebikolwa ebirala eby’ekko.
Ebibiina okuli FDC ,ANT ,JEEMA ne NUP byonna bikiikiridwa era nga bikulembeddwamu Col Kizza Besigye,Robert Kyagulanyi Ssentamu,Gen Mugisha Muntu,Winnie Kizza n’abakulembeze abalala
Abakulembeddemu okusaba kuno bakulembeddwamu Pastor Doctor Abed Bwanika agambye nti eggwanga nga ligenda mu bikujjuko by’e bannaddiini balina okujukiza abakulembeze bakomye okwefaako bokka, wabula bafe ne ku kubannansi.
Omukulembeze w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu Bobi wine atabukidde abavubuka bakanyama abakozesebwa government okutulugunya bavubuka bannaabwe.
Kyagulanyi okwogera bino asinzidde ku Paddy Sserunjogi amanyidwa nga Sobbi eyatiddwa mu bitundu bye Gomba, gw’agambye nti waliwo abazze bamukozesa mu government okutulugunya abalala.
Kyagulanyi alabudde abavubuka nti baleme kukozesebwa ku mubikolwa bya mivuyo nti kubanga gyebinagweera nga bafiiriddwa obulamu.
Omukulembeze w’ekibiina kya FDC oludda olwe Katonga era omuloodi wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago agambye nti okusaba okugasse ebibiina byobufuzi ebivuganya government esaanye ebeere emmanduso y’enkwataga okukyusa obukulembeze bw’eggwanga mu mirembe.
Lukwago agambye nti n’amateeka galina okutandika okukola ku bantu abazze babuzibwawo nebataddamu kulabikako,era agambye nti oludda oluvuganya lutandike n’okukwatira awamu okugenda mu kooti yensi yonna okwerwanako.
Akulira oludda oluwabula government mu parliament Owek Mathias Mpuuga Nsamba alabudde banna Uganda nti bakomye okusirika nga waliwo ebibanyigiriza ng’abantu, wabula basitule amaloboozi gabwe kubanga ssemateeka abakkiriza.
Ken Lukyamuzi ekisinze okuttatana eggwanga lino n bebabaka ba parliament abagulwa buli kadde okukyuusa ssemateeka w’e ggwanga lino.#