Abakulembeze b’oludda oluwabula government mu parliament banjudde embaririra y’omwaka gw’ebyensimbi ogujja ogwa 2024/2025 ya trillion 43 gyebalowooza nti singa government gyetambulirako bannauganda bakugiganyulwamu awatali kusosolwa.
Embaririra eno eyanjuddwa omubaka wa Kira municipality ng’era ye minister w’ebyensimbi ku ludda oluvuganya Ibrahim Ssemujju Nganda.
Gyebuvuddeko government ng’eyita mu ministry y’ebyensimbi yayanjulira parliament embalirira ekyali mu bubage ey’omwaka gw’eby’ensimbi ogujja ogwa 2024/2025 ya trillion 58, ab’oludda oluwabula government gyebawakanyizza ng’angamba nti ejuddemu okwejalabya kungi eri ebitongole bya government ebyenjawulo.
Omubaka Ssemujju agamba ebintu bingi ebisaana okukendezebwa omuli emikolo egisukkiridde, ensimbi ezisaasanyizibwa ku bakungu ba government eziteetaagisa, saako ensimbi eziwebwa omukulembeze w’eggwanga zebagamba nti nazo zisukkiridde.
Ku mukolo guno era kwetabiddwako president w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi Sentamu, avumiridde enguzi esusse mu ggwanga gyagamba nti yevuddeko bannansi obutafuna buweereza obubagwanidde.
Akulira oludda oluwabula government Joel Ssenyonyi Basekeezi agamba bagaala wabeewo obwerufu mu mbaririra ezifulumizibwa kuba kizuuliddwa nti ensimbi ezisinga ziweebwa bantu balubatu ekintu ekireka bannansi ngatebafunye mu musolo gwebasasula.
Bisakiddwa: Edith Nabagereka