Ababaka ku ludda oluwabula government mu parliament basazeewo okukuba government mu mbuga z’a mateeka nga bagiranga okuyisa etteeka erikola ennongosereza mu mateeka agaluηamya eggye ly’eggwanga erya UPDF.
Ababaka ku ludda oluvuganya government bekandazze nebafuluma olutuula lwa Parliament, nga bawakanya obwangu Parliament bwekozesezza okutuuka ku mutendera oguyisa ennoongosereza mu tteeka eriruηamya eggye ly’eggwanga erya UPDF.
Oluvannyuma bevumbye akafubo akatakkiriziddwamu bannamawulire.
Bwebavuddeyo akulira oludda oluwabula government mu parliament Joel Ssenyonyi ayogeddeko eri bannamawulire naategeeza nti basazeewo okutwala government ne parliament mu koot,i nga bagiranga okuyisa etteeka ly’amagye mu ngeri gyayise eyekimpatiira n’okuzimuula ebirowoozo bye bazze agiwa.
Ssenyonyi akoowodde ebitongole by’obwannakyewa nabantu ssekinoomu abaagala babeegatteko mu kaweefube ono owokulwanirira bannauganda okulemesa okuwa kooti y’a magye obuyinza obuwozesa abantu ba bulijjo.#