Kyadaaki omutegesi w’ebivvulu Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex ne munne Francis Elvis Jjuuko bayimbuddwa ku kakalu ka kkooti ka bukadde bwa shilling 2 bulyomu nga z’abuliwo.
Ababeyimiridde okuli Juma Balunywa, Kavuma Musa ne Sserwadda Jimmy bulyomu alagiddwa okusasula obukadde 20 nga sizabuliwo.
Abitex ne munne Jjuuko Francis bavunaanibwa okulagajjalira obulamu bw’abantu, mu kivvulu ekyali kiggalawo omwaka 2022 n’okuggulawo omuggya 2023 ekyategekebwa ku Freedom City e Namasuba mu Kampala nekifiiramu abantu 10.
Mukusooka baali bavvuliddwako emisango 10, nga gyesigama ku bantu 10 abaali baakafa, wabula abantu abalala 2 baafiiridde mu ddwaliro, era n’emisango egivunaanibwa abawawabirwa negirinnyisibwa ku 14.
Abitex ne munne babadde ku alimanda e Luzira, gyebagiddwa nebaleetebwa mu Kkooti e Makindye mu maaso g’omulamuzi Igga Adiru okuwulira okusaba kwabwe okw’okweyimirirwa.
Omulamuzi akkiriza okusaba kwabwe era n’abakkiriza okuwoza nga bava waka.
Omulamuzi abalagidde okukomawo nga 7 omwezi ogujja ogwa February 2023.
Munamateeka w’abawawabirwa Ssalongo Elias Lukwago, alabudde abategesi bebivvulu bonna mu ggwanga nti okukwatibwa kwa Abitex, kabonero akoleka nti omulimu gwabwe guli mu bulabe.
Bisakiddwa: Kiyengo David