Omutegesi w’ebivvulu Abby Musinguzi amanyiddwa nga Abitex asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Kitalya, okutuusa kulwokubiri lwa wiiki ejja nga 10 January 2023.
Abitex agguddwako emisango 10 egy’obulagajjavu obwaviirako abacakaze 10 okufiira mu nsindikagano eyaliwo mu kivvulu ekiggalawo omwaka 2022 ku Freedom City Namasuba mu Kampala.
Abitex asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi w’eddaala erisooka ku kkooti e Makindye Adirondack Igga, neyegaana emisango egyo ng ‘agamba bamusibako matu ga mbuzi kumuliisa ngo.
Oludda lwa government oluwaabi lusabye kkooti okusindika Abitex mu nkomyo ng’okunonyereza ku misango egimuvunaanibwa bwekugenda mu maaso.
Wabula munnamateeka we Erias Lukwago asabye kkooti ekkirize eyimbule omuntu we ku kakalu, nti kubanga ddembe lye erimuweebwa semateeka, naye omulamuzi agaanye nategeeza nti ensonga zino w’akuziwulira wiiki ejja.
Erias Lukwago agambye nti kinakuwaza okulaba nga mu bantu bonna abavunaanibwa ku mbeera eyagwawo, police yasalawo kukwata Abitex okuvunaanwa emisango egyo, n’erema okukwata nnyini kizimbe oba atwala police mu kitundu ekirimu Freedom city.
Kigambibwa nti Abitex yaggala emiryango gyonna egya freedom city n’alekawo omulyango gumu omuggule mu kifo kino abadigize abasukka mu 20,000 mwebalina okuyita, ekyaviirako abantu okwenyigiriza mu mulyango gumu gwokka, bwebaali bafuluma ekivvulu okugenda ebweru okulaba ebiriroliro.
Wabula munnamateeka Erias Lukwago agamba nti omulimu gwokuggala emiryango gino tegwali gwa mutegesi w’akivvulu.
Bisakiddwa : Mpagi Recoboam