Police ekutte omutegesi w’ebivvulu Abby Musinguzi ayitibwa Abitex owa Abitex Promotions, eyategese ekivvulu kya Party after Party ku Freedom City, avunaanibwa misango gya bulagajjavu obwaviiriddeko abantu 10 okufa olw’akannyigo.
Fred Enanga omwogezi wa Police mu ggwanga ategezezza nti waliwo abantu abalala abayiggibwa, nabo babayambeko mu kunoonyereza okugenda mu maaso, okuzuula obulagajjavu webwavudde ekyaviriddeko abantu okufa.
Fred Enanga ategezezza nti bakizudde nti newankubadde abasirikale ba police abalwanyisa obutujju n’abalala baaliwo mu kifo kino, naye bakizudde nti abategeka ekivulu kino, baggala emiryango emirala enna egirina okufulumya abantu nebalekawo omulyango gumu gwoka abaddigize gwebaalina okukokozesa kufuluma okulaba ebiriroliro.
Fred Enanga ategezeza nti abafudde baweze 10 era basobodde okutegeera ebikwata ku bantu 8 abafudde okuli abaana abato, ate eby’abalala ababiri bikyabuze, so nga n’abantu abawerako bakyali mu malwaliro.
Mukiwendo Kye kimu Fred Enanga ategezeza nti bagenda kuvunana abazadde abalina abaana abali wansi w’emyaka 18 abaffiridde mu njega eno, nti kubanga kimenya mateeka abaana bo okubeera mu bikeesa.
Enanga ategezeza nti ebitongole bya police ebyenjawulo bikyagenda mu maaso n’okunonyereza ku byabaddewo.
Mu ngeri yeemu, Luke Oweyisigire amyuka omwogezi wa Police mu Kampala n’emirirano ategezeza nti police eriko abantu abawerera ddala 250 beyayodde mu bikwekweto byeyakoze, ku bantu abateeberezebwa okwenyigira mu bikolwa eby’obumenyi bw’amateeka mu bifo ewabadde ebivvulu eby’okumalako omwaka 2022.
Bisakiddwa: Mukasa Dodovico