Abantu 4 abeeyimirira omuwandiisi w’ebitabo Kakwenza Rukirabashaija basasudde omutango gwa bukadde bwénsimbi 40, olwókweyimirira omuntu naataddamu kulabika mu kkooti.
Gyebuvuddeko Kkooti ya Buganda road yayisa ekibaluwa amulabako amukwate eri abeyimirira Kakwenza.
Omusango oguvunaanibwa abana bano olwókweyimirira omuntu nabulawo, gubadde guwulirwa leero, wabula ate omulamuzi wa kkooti ya Buganda road aguli mu mitambo Douglas Singiza tabaddewo.
Omulamuzi Sanura Nambozo awulidde emisango gya leero, agwongezaayo okutuusa nga 01 omwezi ogujja ogwa June,2022.
Munnamateeka wa Kakwenza Samuel Wanda agambye nti ensimbi obukadde 40 ezómutango abana bano zebalina okutanga, zateekeddwa dda ku ‘account’ y’ekitongole ekiramuzi.
Kyebalindiridde ye mulamuzi Singiza okubejeereza.
Ab’eyimirira Kakwenza kuliko; Ssaabawandiisi w’ekibiina kya NUP David Lewis Lubongoya, munnamateeka Julius Galisonga, Anna Ashaba ne Job Kiija .
Mu mwezi gwa January 2022, Kakwenza Rukirabashaija yayimbulwa ku kakalu ka kooti, ku misango gy’okutaataganya emirembe gya president Yoweri Kaguta Museveni ne mutabani we Lt. Gen. Muhoozi Kainerugaba.
Wabula Kakwenza olwayimbulwa yaddukira mu Germany, gyeyagamba nti yagenda kufuna bujanjabi, olwóbuvune obwamutuusibwako ngaali mu kaduukulu.
Kakwenza yakwatibwa nga 28 December,2021, nga kigambibwa nti obubaka obunyiiza president Museven ne mutabani we yabuwandiika ku kibanja kye ekya Twitter.