Abantu abasoba mu 500 okuva mu maka agali eyo mu 140 mu bitundu bye Nakaseke Central mu ssaza Bulemeezi abaagoyebwa kibuyaga eyasaanyaawo ebyabwe bekubidde omulanga eri offiisi ya ssabaministera mu ministry yebigwa tebiraze bagala buyambi.
Abatuuze bano bagamba nti bagala bayambibwe nebikozesebwa mu bulamu obwa bulijjo kubanga kibuyaga n’omuzira tewali kyegwabalekera.
Bavudde mu gombolola okuli Kikamulo ,Kito ne Kiwoko Town council.
Omubaka w’ekitundu ekya Nakaseke Central Allan Mayanja Ssebunnya anyonyodde nti kibuyaga nemuziira eyabagoya ku nkomerero y’omwezi ogwokusatu ,yaleka ayonoonye buli kyebaalina era tebaasigaza kantu.
Abantu bano banyonyodde nti amayumba gabwe gaattikukako obusolya ,n’emisiri gyemmere gyasanyizibwawo.
Basabye office ya Ssaabaminister ebaddukirire nobuyambi bw’emmere ,ensigo zokusimba ,amabaati nebirala ebirambikiddwa mu alipoota eyakoleddwa CAO wa district ye Nakaseke, nga yayanjuddwa omubaka Allan Mayanja Ssebunnya.