Obulwadde bw’amambulugga bweyongedde mu district ye Luuka, abazadde balabuddwa okutwala abaana amangu mu malwaliro.
Akulira ebyobulamu mu district ye Luuka Bwire Yunus agambye nti abaana abasukka mu 300 bebakalumbibwa amambulugga mu mwezi guno, era nga bangi bali ku bitanda mu malwaliro agenjawulo.
Asabye abakulu ku Ministry yebyobulamu baddukirire district nga embeera tennasajjuka.
Bwire agambye nti abasinze okukosebwa baana abali wansi w’e myaka 15, nga balumbibwa omusujja ogw’amaanyi, okulumwa omutwe,okuzimba emba n’ensingo,okuyiika amalusu n’ebirala.
Bwire alabudde abazadde obutasibira baana mu mayumba n’okubalrka ewaka nga babasiize eddagala ly’engatto ku matama n’okubasibamu entula, nti wabula babatwale mangu mu malwaliro naddala abalina emisujja bajanjabibwe.
Bisakiddwa: Kirabira Fred