Obunkenke bweyongedde mu district ye Kyotera n’emiriraano, olw’obubbi naddala obw’emmundu obweyongedde.
Obunyazi obwakasembayo bukoleddwa ku maduuka agatunda eddagala mu Kyotera okuli Namirembe Drug shop ne JJ phamarcy, era eddagala eriwerako abazigu bakuuliise nalyo.
Gyebuvuddeko abazigu era baateega omusuubuzi nebamukuba amasasi misana ttuku, nebamunyago ensimbi ezikunukkiriza mu bukadde 90 zeyali yakaggya mu bank.
Ababbi abalala baalumba edduuka lya mobile money ku mudumu gw’emmundu nebanyaga obukadde bwa shs 150.
Police ekoze ekikwekweto mu Kyotera eyodde abavubuka 28 abateeberezebwa okwenyigira mu bumenyi bw’amateeka.
Bisakiddwa: Ssozi Ssekimpi Lwazi