Abantu 5 bebali mu malwaliro bapooca n’ebisago, baalumbiddwa abatemu mu kiro, ku kyalo Nakasozi Cell mu Kyengera Town Council mu district ye Wakiso.
Abantu abalumbiddwa balirwaana b’omubaka Medard Lubega Sseggono.
Ennyumba zebalumbye babadde batemaatema enziji n’amadirisa nebayingira amayumba olwo nebatandika okubasaba ensimbi.
Abamu ku bantu abatemeddwa omusasi wa CBS basanze mu malwaliro bagamba nti abatemu babadde bambadde obukookolo, mu ssaawa nga mwenda ogw’ekiro nebatandika okubasaba ensimbi, ababadde tebalina nga babawewenyula kibooko n’okibatema embale.
Abatuuze mu kitundu kino bagamba nti guno sigwemulundi ogusoose okulumbibwa abatemu, nga ne ku lunaku lwa ssekukkulu lwennyini waliwo abaalumbibwa.
Police eyitiddwa okulaba ogubadde era netandikirawo okunoonyereza.
Luke owesigire amyuka omwogezi wa police mu Kampala n’emiriraano agambye nti bakyalinze alipoota enzijuvu eva e Nakasozi.
Bisakiddwa: Lukenge Sharif