Abanyazi bamenye klezia ya St Christine Nkumba Central mu Kigo kye Mpala mu Vicariet eye Ntebbe,babbye emizindaalo egikozesebwa mu kusaba missa.
Okusinziira ku Gabriel Luyima Birwa ssabakristu w’ekisomesa kino, omukyaala alongoosa eklezia abadde agenze kutegeka klezia, mu kwetegekera missa ya sunday, asanze klezia nzigule nga n’ebintu byatwaliddwa.
Luyima agambye nti ssi gwe mulundi ogusoose ng’abazigu bamenya klezia eno, nti naye bagezezaako kyebasobola okunyweza ebyokwerinda bya klezia, nti naye abanyazi babalabiriza nebakomawo.
Ababbi befunyiridde okulumba amasinzizo nebanyagamu ebintu ebyenjawulo, omuli klezia y’e Nswanjere mwebabba emizindaalo n’ebikompe, e Bukomansimbi ne ssembabule nayo abanyazi bazze bababbako ebintu by’e klezia.
Bisakiddwa: Kakooza George