Abalimi n’abalunzi abatereka mu bank y’abegassi ya Bukooba MG sacco bali mu maziga abazigu abatannategerekeka balumbye banka yabwe, bakuliise n’ensimbi ezitannategerekeka muwendo, wamu ne computer.
Obunyazi buno bubadde ku banka y’abegassi eya Bukooba MG esangibwa mu muluka gwe Bukooba mu Ggombolola ye Ssekanyonyi.
Banka eno yatandikibwawo abalimi n’abalunzi nga bayambibwako government ya South Korea ng’eyita mu kibiina kyayo ekya KOICA emyaka 3 egiyise.
Sacco eno Etwala ebyalo munaana ebikola omuluka gwe Bukooba okuli Bukooba, Nakiragala, Lukingiridde, Kannyogoga, Katungulu nebirala erina ba memba abakunukkiriza 5000.
Abagikulira bagamba nti waliwo ensimbi obukadde 180 ezajjiddwa mu kifo kino n’ezitwalibwa okuterekebwa mu banka y’ebyobusuubuzi gyebatereka, newasigalawo obukadde obukunukkiriza 30 nga kiteeberezebwa nti bakyala kimpadde bano bwebaakuulise nabwo.
Ssentebe w’e gombolola ye Ssekanyonyi John Membe agambye nti abampembe bano bandiba nga baakozesezza omukisa gw’enkuba eyabadde efudemba mu kiro n’ebamenya nga tebalina abakuba ku mukono.
Ssentebe Membe John nga yomu ku begassi abatereka ne ssacco eno asabye ba memba babeere bakkakkamu, n’abasaba bakwasizeeko police mu kunoonyereza.
Kyokka obuzibu obutadde ku gabinja g’abavubuka agamerukawo mu kitundu kino, nti tebaagala kukola obudde babumalira mu bibanda bya zzaala.
Police yatandikiddewo okunoonyereza.
Bisakiddwa: James Kaana Ssebuguzi